980 likes | 994 Views
Are you a teacher with a class of thirty children? This conversation discusses the number of children in the class, whether they are all girls or a mix of girls and boys, and other related topics.
E N D
Oli musomesa. Olina abaana bameka mu kibiina kyo? Oli musomesa. Olin_abaana bameka mu kibiina kyo? You are a teacher. How many children are in your class?
I have thirty children. Nina abaana amakumi asatu. Nin_abaan_amakumi asatu.
Oh, that’s many. Are they all girls or you teach both girls and boys? Ooo! Bangi! Bonna bawala, oba osomesa abawala n’abalenzi? Ooo! Bangi! Bonna bawala, oba osomes_abawala n’abalenzi?
All are girls. Bonna bawala.
Girls only? Bawala bokka?
Mary’s class has 12 girls. Ekibiina kya Mary mulimu abawala kkumi na babiri. Ekibiina kya Mary mulim_abawala kkumi na babi_i.
My bag has 13 mangoes. Mu nsawo yange mulimu emiyembe kkumi na ssatu.
Are all my shoes on the table? Engatto zange zonna ziri ku mmeeza? Engatto zange zonna zi_i ku mmeeza?
Yes, all are there! Yee, zonna weziri! Yee, zonna wezi_i!
Nakimuli is always going to the shops. Nakimuli agenda bulijjo mu maduuka.
Paulo reads a book from time to time. Paulo asoma oluusi n’oluusi ekitabo.
Nansubuga rarely sings. Nansubuga ayimba bbalirirwe. Nansubuga ayimba bbali_i_we.
Nakawangi drinks coffee every day. Nakawangi anywa kaawa buli lunaku.
He/she talks loudly all the time. Ayoogaana buli kiseera. Ayoogaana buli kisee_a.
The bushbuck never gets tired. Engabi tekooyera. Engabi tekooye_a.
It [rain] continued all night. Enkuba yacekera ekiro kyonna. Enkuba yakyeke_a eki_o kyonna.
Diana, please go just now and buy sugar. Diana mwattu, genda kaakati okugula ssukaali.
Henry swims two days/twice a week. Henri awuga ennaku ebiri buli wiiki. Henri awuga ennaku bi_i buli wiiki.
What time are you going to town? Ogenda mu kibuga ssaawa mmeka?
When does the meeting start? Olukiiko lutandiika ddi?
When does the meeting end? Olukiiko luggwa ddi?
His/her favourite cat Kkapa ye eŋŋanzi kayingo
A small house Akayumba
A hut Akasisira Akasisi_a
A bicycle Akagaali
History Ebyafaayo
a story / a tale Olugero Oluge_o
Wealth, riches Obugagga
Today Leero Lee_o
This morning Enkya ya leero Enkya ya lee_o
This afternoon Eggulo lya leero Eggulo lya lee_o
This evening Ekiro kya leero Eki_o kya lee_o
The shop was empty. Edduuka lyali jjereere. Edduuka lyali jje_ee_e.
The entire road was muddy. Ekkubo lyonna lifuuse kasambajjo.
Kampala is a city. Kampala kibuga.
It [Kampala] is the capital city of ('in') Uganda. Kye kibuga ekikulu mu Uganda. Kye kibug_ekikulu mu Uganda.
It [Kampala] is in the centre of Uganda. Kiri mu makkati ga Uganda. Ki_i mu makkati ga Uganda.
Therein [Kampala] are many different people. Kirimu abantu bangi ab'enjawulo. Ki_i_mu abantu bangi ab'enjawulo.
They come from many tribes/nations. Bava mu mawanga mangi.
Many people live in Kampala. Abantu bangi babeera mu Kampala.
They do many different kinds of work. Bakola emirimu mingi egy'enjawulo. Bakola emi_i_mu mingi egy'enjawulo.
They do carpentry. Babajja.
They build / do construction. Bazimba.
They do office jobs. Bakola emirimu egy'omu ofiisi. Bakola emi_i_mu egy'om_ofiisi.
There[in] are many offices. Mulimu ofiisi nnyingi.
There[in] are many departments. Mulimu ebitongole bingi.
Our favourite story Olugero lwaffe oluganzi kayingo
The other animal Ekisolo ekirala Ekisolo eki_ala
To meet Okusanga
To visit Okukyala