1.07k likes | 1.12k Views
Olwaleero tunaalya bannyanja, oba nnyama?. Today, shall we eat fish or meat?. Or should we eat some meat, as yesterday we ate fish. Oba tulye ku nnyama, anti jjo twalya byannyanja. Ooo! Ndowooza ka ŋŋende ngule ennyama. Yeh! I think I should go buy meat. Aaa, nedda, kozzi ŋŋambye nnyama?.
E N D
Olwaleero tunaalya bannyanja, oba nnyama? Today, shall we eat fish or meat?
Or should we eat some meat, as yesterday we ate fish. • Oba tulye ku nnyama, anti jjo twalya byannyanja.
Ooo! Ndowooza ka ŋŋende ngule ennyama. Yeh! I think I should go buy meat.
Aaa, nedda, kozzi ŋŋambye nnyama? Ah, no. Did I say ‘meat’?
Anti ogambye nti jjo twalya byannyanja. As you said that we ate fish yesterday.
Ooo! Kale tulye ennyama. Tulye nnyama ki nno, leero? Oh! Ok, let’s eat meat. We’ll eat what kind of meat, today?
Ennyama y'ente? Beef?
Ey'embuzi si ye yandisinze? [Wouldn’t] goat’s [meat] be better?
Kale, ka ŋŋende nguleyo kilo nga ssatu awo. Alright, let me go buy there about some three kilos.
Ka ŋŋende ngule ennyama. Let me go buy meat.
Genda ogule ennyama. Go buy meat.
Ka ntuule mpandiike ebbaluwa. Let me sit and write a letter.
Olwa leero tunaalya bannyanja, oba nnyama? Today, shall we eat fish or meat?
Tuula owandiike ebbaluwa. Sit and write a letter.
Ka tugende tugule ennyama. Let’s go buy meat.
Mugende mugule ennyama. Go [you -.pl] buy meat.
Ka tutuule tuwandiike ebbaluwa. Let’s sit and write a letter.
Mutuule muwandiike ebbaluwa. Sit [you -.pl] and write a letter.
Ka tugende tubabuuze. Let’s go and greet them.
Tuula owandiike ebbaluwa. Sit and write a letter.
Mugende mubabuuze. Go [you -.pl] and greet them.
Ka tuyingire tutandike okusoma. Let’s go in and start studying.
Muyingire mutandike okusoma. Go [you -.pl] in and start studying.
Tulirya ebyennyanja. We will eat fish.
Tetulirya byannyanja. We will not eat fish.
Tunaalya ebyennyanja. We shall eat fish.
Tetulya byannyanja. We won’t eat fish.
Tulya ebyennyanja. We eat fish.
Tetulya byannyanja. We don’t eat fish.
Tulidde ebyennyanja. We have eaten fish[recently].
Tetulidde byannyanja. We haven’t eaten fish.
Twalya ebyennyanja. We ate fish [not recently]
Tetwalya byannyanja. We did not eat fish [-not recently].
Twalidde ebyennyanja. We did eat fish [fairly recently].
Tetwalidde byannyanja. We did not eat fish [fairly recently].
Ndigula kilo bbiri.Sirigula kilo bbiri. I will buy two kilos. I will not ..
Nnaagula kilo bbiri.Siigula kilo bbiri. I shall buy two kilos’. I shall not ..
Nguze kilo bbiri.Siguze kilo bbiri. I have [recently] bought two kilos. I have not ..
Naguze kilo bbiri.Saaguze kilo bbiri. I bought two kilos. I have not ..[ fairly recently.]
Nagula kilo bbiri.Saagula kilo bbiri. I bought two kilos [sometime ago]. I have not ..
Balya emirundi ebbiri oba essatu. They eat two or three times.
Tebalina kiseera kulya kyankya. They don’t have time to eat breakfast.
Oluvannyuma lwa kaawa bayinza okulya ekyemisana. After coffee, they can eat lunch.
Okusooka ku makya … First in the morning …
Balima ..ne balima They dig .. and they dig
Nnima ..ne nnima I dig .. and I dig
Bagenda ..ne bagenda They go .. and they go
Ŋŋenda ..ne ŋŋenda I go .. and I go
Bawandiika ..ne bawandiika They write .. and they write
Mpandiika ..ne mpandiika I write .. and I write